Nehemiah 1:1

Okusaba kwa Nekkemiya

1 aEbigambo bya Nekkemiya mutabani wa Kakaliya:

Awo mu mwezi gwa Kisuleevu mu mwaka ogw’amakumi abiri
Bino byabaawo oluvannyuma lw’emyaka kyenda mu gumu (91), ng’abaawaŋŋangusibwa bakomyewo; nga mu mwaka 446 bc.
bwe nnali nga ndi mu lubiri mu kibuga ekikulu ekya Susani,
Susani ky’ekibuga bakabaka b’e Buperusi abasatu gye baabeeranga mu biseera eby’obutiti. Ekibuga ekyo kyali mu kiwonvu ky’omugga Tigiriisi.
Copyright information for LugEEEE